We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

1 Bassekabaka 9

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← 1 Bassekabaka 8 1 Bassekabaka 1 Bassekabaka 10 →

1Awo Sulemaani bwe yamala okuzimba yeekaalu ya Mukama n’olubiri lwe, n’okuzimba ebyo byonna bye yasiima,

2Mukama n’amulabikira omulundi ogwokubiri, nga bwe yamulabikira e Gibyoni.

3Mukama n’amugamba nti,

4“Naawe bw’onootambuliranga mu maaso gange n’omutima ogw’amazima n’obugolokofu, nga Dawudi kitaawo bwe yakola, era n’okolanga bye nkulagira byonna, n’okwatanga amateeka gange,

5nnaanyweza entebe yo ey’obwakabaka mu Isirayiri emirembe gyonna, nga bwe nasuubiza Dawudi kitaawo bwe n’ayogera nti, ‘Tolirema kuba na musajja ow’omu lulyo lwo anaatuulanga ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri.’

6“Naye ggwe oba batabani bo bwe munanjeemeranga ne mutakwatanga biragiro byange n’amateeka ge mbawadde, ne mutanula okuweereza bakatonda abalala,

7kale ndiggya ku Isirayiri ensi gye mbawadde era ne yeekaalu gye ntukuzizza n’erinnya lyange ndigireka. Olwo Isirayiri erifuuka eky’okunyoomoolwa n’ekyokusekererwa mu mawanga gonna.

8Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikirira kaakano, buli anaayitangawo aneewunyanga n’aŋŋoola ng’agamba nti, ‘Kiki ekireetedde Mukama okukola ekintu bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’

9Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku Mukama Katonda waabwe, eyaggya bajjajjaabwe mu Misiri, ne basembeza bakatonda abalala, n’okubasinza ne babasinza era n’okubaweereza ne babaweereza. Mukama kyavudde ababonereza mu ngeri eyo.’ ”

10Ku nkomerero y’emyaka amakumi abiri, mu kiseera Sulemaani mwe yazimbira ebizimbe byombi, eyeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwe olw’obwakabaka,

11Kabaka Sulemaani yagabira Kiramu kabaka w’e Ttuulo ebibuga amakumi abiri, olw’emivule, n’emiberosi ne zaabu bye yaweereza Sulemaani.

12Naye Kiramu bwe yava e Ttuulo n’agenda okulambula ebibuga Sulemaani bye yamugabira, ne bitamusanyusa.

13N’amubuuza nti, “Bino bibuga bya ngeri ki by’ompadde muganda wange?” N’abituuma erinnya Kabuli, era bwe biyitibwa n’okutuusa olunaku lwa leero.

14Kiramu yali aweerezza kabaka ttani nnya eza zaabu.

15Kabaka Sulemaani mu buyinza bwe n’amaanyi ge, yakuŋŋaanya abasajja ab’amaanyi bangi okuzimba yeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwe, n’obusenge obuwagika bbugwe wa Yerusaalemi, n’ebibuga ebya Kazoli, ne Megiddo ne Gezeri.

16Falaawo, ye kabaka w’e Misiri yali atabadde, n’okuwamba n’awamba Gezeri, n’akireka ng’akikumyeko omuliro, ng’asse Abakanani abaakibeerangamu. Ekifo ekyo n’akigabira muwala we, muka Sulemaani ng’ekirabo ku mbaga yaabwe.

17Awo Sulemaani n’akizimba buggya; n’azimba ne Besukolooni ekya wansi,

18Baalasi ne Tamali mu ddungu,

19n’ebibuga eby’amawanika, n’omwakuumirwanga amagaali, n’abeebagala embalaasi ze, ne byonna bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, ne mu Lebanooni ne mu bitundu byonna bye yafuganga.

20Abantu bonna abaasigalawo ku Bamoli, n’Abakiiti, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi, abataali Bayisirayiri,

21Abayisirayiri be bataayinza kuzikiririza ddala, Sulemaani n’abafuula baddu, n’okutuusa leero.

22Naye teyafuula Muyisirayiri n’omu muddu, wabula bo baali nga balwanyi be, na bakungu be, na baami be, na baduumizi b’amagaali na beebagazi ba mbalaasi ze.

23Era be baali nga abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gye gyonna, era abo bonna abaavunaanyizibwanga emirimu egyo, awamu nga bawera abakungu ebikumi bitaano mu ataano.

24Awo muwala wa Falaawo bwe yava mu kibuga kya Dawudi n’agenda mu lubiri Sulemaani lwe yamuzimbira, Sulemaani n’azimba obusenge obuwagika bbugwe.

25Sulemaani yawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emirembe ku kyoto kye yazimbira Mukama, emirundi esatu9:25 Emirundi esatu mu mwaka, z’embaga ssatu enkulu: Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, n’Embaga eya Wiiki, n’Embaga ey’Ensiisira (Kuv 23:14-17; Ma 16:16; 2By 8:13) mu mwaka, ng’ayotereza obubaane mu maaso ga Mukama, ng’atuukiriza obulombolombo bwa yeekaalu.

26Kabaka Sulemaani yazimba n’ebyombo mu Eziyonigeba9:26 Eziyonigeba Sulemaani bwe yawamba omwalo gw’omu Eziyonigeba, ekyali mu Edomu, kyamusobozesa okusuubuliranga ku Nnyanja Emyufu ne ku Guyanja ogunene ogwa Buyindi okuliraana Erosi mu Edomu, ku lubalama lw’ennyanja Emyufu.

27Kiramu n’aweereza abasajja be abalunnyanja okukoleranga awamu n’aba Sulemaani.

28Ne baseeyeeya okutuuka mu Ofiri9:28 Ofiri Bangi bagamba Ofiri kyali kibuga ku myalo gya Buwalabu oba ku mwalo gwa Somaliya, oba Buyindi oba Zimbabwe. Tekimanyiddwa bulungi., ne baleeta ttani kkumi na nnya eza zaabu eri Sulemaani.

← 1 Bassekabaka 8 1 Bassekabaka 1 Bassekabaka 10 →

1 Bassekabaka 9 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™