1Ebibinja eby’abazzukulu ba Alooni nga bwe bagabanyizibwamu byali bwe biti:
2Naye Nadabu ne Abiku baasooka kitaabwe okufa, ate nga baafa tebazzadde baana. Eriyazaali ne Isamaali kyebaava baawulibwa era ne batandika okukola omulimu ogw’obwakabona.
3Dawudi ng’ayambibwako Zadooki muzzukulu wa Eriyazaali, ne Akimereki muzzukulu wa Isamaali, yabaawulamu ebibinja nga bwe baalondebwa mu kuweereza kwabwe.
4Kyazuulibwa nga abakulembeze mu bazzukulu ba Eriyazaali baali bangi okusinga abazzukulu ba Isamaali, bwe bati bwe bagabanyizibwamu: mu bazzukulu ba kkumi na mukaaga, okuba abakulu b’ennyumba ne ku bazzukulu ba Isamaali munaana okuba abakulu b’ennyumba.
5Baabagabanyamu nga bakubye obululu, kubanga waaliwo abakungu abamu nga ba mu kifo ekitukuvu, n’abalala nga bakungu ba Katonda naye nga bonna bazzukulu ba Eriyazaali ne Isamaali.
6Semaaya Omuwandiisi, mutabani wa Nesaneri, Omuleevi, n’awandiikira amannya gaabwe mu maaso ga kabaka n’abakungu nga Zadooki kabona, ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali, n’abakulu b’ennyumba za bakabona, n’Abaleevi, ennyumba emu ng’eronderwa Eriyazaali, n’endala ng’eronderwa Isamaali.
7Akalulu akaasooka kaagwa ku Yekoyalibu,
8n’akokusatu ku Kalimu,
9n’akookutaano ku Malukiya,
10n’ak’omusanvu ku Kakkozi,
11n’ak’omwenda ku Yesuwa,
12n’ak’ekkumi n’akamu ku Eriyasibu,
13n’ak’ekkumi noobusatu ku Kuppa,
14ak’ekkumi noobutaano ku Biruga,
15n’ak’ekkumi n’omusanvu ku Keziri,
16n’ak’ekkumi n’omwenda ku Pesakiya,
17ak’amakumi abiri mu kamu ku Yakini,
18n’ak’amakumi abiri mu busatu ku Deraya,
19Kuno kwe kwali okulondebwa kw’obuweereza bwabwe, bwe baayingiranga mu yeekaalu ya Mukama, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa jjajjaabwe Alooni, nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira.
20Bazzukulu ba Leevi abalala baali:
21Ku ba Lekabiya, Issiya ye yali omuggulanda.
22Ku Bayizukaali Seromosi,
23Ku batabani ba Kebbulooni,
24Mutabani wa Winziyeeri, ye yali Mikka;
25Muganda wa Mikka ye yali Issiya,
26Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi.
27Batabani ba Merali,
28Okuva ku Makuli, Eriyazaali, ataazaala baana babulenzi.
29Okuva ku Kiisi, yali mutabani we Yerameeri.
30Ne ku batabani ba Musi, Makuli, ne Ederi ne Yerimosi.
31Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu, nga baganda baabwe bazzukulu ba Alooni bwe baakola, mu maaso ga Kabaka Dawudi, ne Zadooki, ne Akimereki, n’abakulu b’ennyumba za bakabona n’Abaleevi. Ennyumba ya muganda waabwe omukulu yayisibwanga mu ngeri y’emu ng’ey’omuto.