1Awo ne baleeta essanduuko ya Mukama, ne bagiyingiza mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe eri Katonda.
2Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama,
3era n’agabira buli Muyisirayiri omusajja n’omukazi, omugaati n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, n’ekiyungula ky’ennyama.
4Yalonda abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g’essanduuko ya Mukama, okukoowoola nga basaba, nga beebaza, era nga batendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri.
5Asafu ye yali omukulu waabwe, Zekkaliya n’amuddirira, Yeyeeri n’addako, n’oluvannyuma Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeri, abookukuba entongooli n’ennanga, Asafu ye ng’akuba ebitaasa.
6Benaya ne Yakaziyeeri bakabona be baafuuwanga amakondeere bulijjo mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Katonda.
7Awo ku lunaku olwo, Dawudi n’alagira Asafu n’abantu be yakolanga nabo, basooke okwebaza Mukama nga bagamba nti:
8Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye,
9Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza
10Erinnya lye ligulumizibwe,
11Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge;
12Mujjukire ebyewuunyo by’akoze,
13mmwe abazzukulu ba Isirayiri, abaweereza be,
14Ye Mukama Katonda waffe;
15Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
16gye yakola ne Ibulayimu,
17N’aginyweza ng’etteeka eri Yakobo,
18ng’agamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani, ng’omugabo, ogw’obusika bwo.”
19Omuwendo gwabwe bwe gwali omutono,
20baatambulatambulanga okuva mu nsi emu okudda mu ndala,
21Teyaganya muntu n’omu kubanyigiriza;
22ng’agamba nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta,
23Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna;
24Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga,
25Mukama mukulu era asaanira okutenderezebwa;
26Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi,
27Ekitiibwa n’obukulu biri mu maaso ge,
28Mugulumize Mukama, mmwe ebika eby’amawanga byonna,
29Muyimusize Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye;
30Mukankane mu maaso ge ensi yonna,
31Eggulu lisanyuke, n’ensi ejaguze;
32Ennyanja ewuume, n’ebigirimu byonna,
33Awo emiti egy’omu kibira ginaayimba,
34Weebaze Mukama kubanga mulungi;
35Mwogerere waggulu nti, “Tulokole, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
36Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri
37Awo Dawudi n’aleka Asafu n’ababeezi be, okuweereza Mukama mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama, nga bwe kyagwaniranga buli lunaku.
38Obededomu n’ababeezi be enkaaga mu omunaana nabo yabaleka baweereze eyo. Obededomu mutabani wa Yedusuni, era ne Kosa be baali abaggazi.
39Dawudi yaleka Zadooki, kabona ne bakabona banne mu maaso g’eweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu e Gibyoni
40okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, buli nkya na buli kawungeezi, nga byonna bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yawa Isirayiri.
41Kemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo.
42Era Kemani ne Yedusuni baavunaanyizibwanga okufuuwa amakondeere, n’okukuba ebitaasa, n’okukubira ebivuga ebirala ku luyimba lwa Katonda. Batabani ba Yedusuni baabeeranga ku wankaaki.
43Awo abantu bonna ne baddayo ewaabwe, ne Dawudi n’addayo okusabira ennyumba ye omukisa.