We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

1 Ebyomumirembe 13

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← 1 Ebyomumirembe 12 1 Ebyomumirembe 1 Ebyomumirembe 14 →

1Dawudi n’ateesa n’abaduumizi be ab’enkumi n’ab’ekikumi.

2N’ayogera eri ekkuŋŋaaniro ly’abantu bonna aba Isirayiri nti, “Bwe munaasiima, era nga kwe kusiima kwa Mukama Katonda waffe, ekigambo kitwalibwe era kibune eri baganda baffe mu nsi yonna eya Isirayiri, n’eri bakabona, n’Abaleevi ababeera nabo mu bibuga byabwe ne mu malundiro, bajje batwegatteko.

3Tukomyewo essanduuko ya Katonda waffe, kubanga tetwamwebuuzangako mu mirembe gya Sawulo.”

4Olukuŋŋaana lwonna ne likikiriziganyako, kubanga ky’alabika nga kigambo kirungi mu maaso g’abantu bonna.

5Awo Dawudi n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna okuva ku Sikoli omugga gw’e Misiri okutuuka ku wayingirirwa e Kamasi, n’aleeta essanduuko ya Katonda okugiggya e Kiriyasuyalimu.

6Dawudi n’Abayisirayiri bonna ne bagenda e Baala, ye Kiriyasuyalimu, ekya Yuda okuggyayo essanduuko ya Katonda atuula ku ntebe ey’obwakabaka wakati wa bakerubi, eyitibwa erinnya lya Mukama.

7Ne basitulira essanduuko ya Katonda ku ggaali eriggya okuva mu nnyumba ya Abinadaabu, nga Uzza ne Akiyo be bagikulembera.

8Dawudi ne Isirayiri yenna ne basanyuka nnyo mu maaso ga Katonda n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba nga bakuba entongooli, n’ennanga, n’ebitaasa, n’ebisaala, n’amakondeere.

9Bwe baatuuka ku gguuliro lya Kidoni, ente ezaali zisika essanduuko ne zeesittalamu, Uzza n’agolola omukono gwe okutereeza essanduuko.

10Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Uzza, n’afiirawo, kubanga yakwata ku ssanduuko. N’afiira mu maaso ga Katonda.

11Awo Dawudi n’anyiiga nnyo kubanga obusungu bwa Mukama bwagwa ku Uzza, era ekifo ekyo ne kituumibwa Perezuzza, ne leero.

12Dawudi n’atya nnyo Katonda ku lunaku olwo, n’abuuza nti, “Nnyinza ntya okuleeta essanduuko ya Katonda gye ndi?”

13Awo n’atatwala ssanduuko mu kibuga kya Dawudi, naye n’agitwala mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.

14Essanduuko ya Katonda n’ebeera mu maka ga Obededomu okumala emyezi esatu, ne Mukama n’awa ennyumba ye n’ebintu bye byonna omukisa.

← 1 Ebyomumirembe 12 1 Ebyomumirembe 1 Ebyomumirembe 14 →

1 Ebyomumirembe 13 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™