We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

1 Ebyomumirembe 11

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← 1 Ebyomumirembe 10 1 Ebyomumirembe 1 Ebyomumirembe 12 →

1Isirayiri yenna ne bakuŋŋaanira eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba tuli ba mubiri gwo, na musaayi gwo.

2Mu biro eby’edda, Sawulo bwe yali kabaka ggwe wakulembera Isirayiri mu ntalo. Era Mukama Katonda wo n’akugamba nti, ‘Ggwe olirabirira abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ”

3Awo abakadde ba Isirayiri bonna ne bakuŋŋaanira eri Kabaka Dawudi e Kebbulooni, n’akola endagaano nabo e Kebbulooni mu maaso ga Mukama, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza mu kigambo kye ng’ayita mu Samwiri.

4Awo Dawudi ng’ali wamu n’Abayisirayiri bonna ne boolekera Yerusaalemi, ye Yebusi. Ne basangayo Abayebusi abaabeerangamu.

5Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Tojja kuyingira muno.” Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni, ky’ekibuga kya Dawudi.

6Dawudi yali asuubizza nti, “Oyo anaakulembera okulumba Abayebusi, ye aliba Omuduumizi w’eggye omukulu.” Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’abakulembera era n’aweebwa obukulu obwo.

7Awo Dawudi n’abeeranga mu kigo, era ne kituumibwa Ekibuga kya Dawudi.

8N’azimba ekibuga okukyetooloola, okuva ku Miiro okutuukira ddala ku bbugwe w’ekibuga, ate Yowaabu ye n’addaabiriza ebitundu ebirala eby’ekibuga.

9Awo Dawudi ne yeeyongeranga okuba ow’amaanyi, kubanga Mukama ow’Eggye yali wamu naye.

10Bano be baali abasajja abalwanyi abazira aba Dawudi, abaamuwagiranga ennyo mu bwakabaka bwe, wamu ne Isirayiri yenna okumufuulira ddala kabaka ow’enkalakkalira ng’ekigambo kya Mukama kye yasuubiza Isirayiri bwe kyali;

11Bano be basajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yasobeyamu Omukakumoni, eyali omukulu w’abaduumizi abasatu; era yayimusiza abasajja abalwanyi bisatu effumu lye bonna n’abatta mu lulumbagana lumu.

12Eyamuddiriranga mu buyinza ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodo Omwakowa, era nga y’omu ku baduumizi abasatu.

13Yali wamu ne Dawudi e Pasudawinimu, bwe baali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, mu nnimiro eyalimu sayiri omungi, era abaserikale badduka Abafirisuuti.

14Naye baayimirira wakati mu nnimiro ne bagirwanirira, era ne batta Abafirisuuti, nga Mukama y’abawadde obuwanguzi.

15Awo abasajja basatu ne balaga mu mpuku ya Adulamu omwali Dawudi, nga n’eggye ly’Abafirisuuti lisiisidde mu kiwonvu Lefayimu.

16Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, nga n’eggye ly’Abafirisuuti liri e Besirekemu.

17Dawudi n’ayagala amazzi, n’agamba nti, “Singa wabaddewo omuntu anfunira amazzi ag’okunywa ag’omu luzzi oluli okumpi ne wankaaki ya Besirekemu.”

18Awo abasajja abazira abasatu ne bawaguza mu ggye ly’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi oluli okumpi ne wankaaki wa Besirekemu, era ne bagatwalira Dawudi. Naye Dawudi mu kifo ky’okuganywa yagawaayo ng’agafuka eri Mukama.

19N’agamba nti, “Nnyinza ntya okunywa omusaayi gw’abasajja bano, abawaddeyo obulamu bwabwe, okumpi n’okubufiirwa?” Olw’okuwaayo obulamu bwabwe okugaleeta, Dawudi yali tasobola kuganywa.

20Abisayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w’abo abasatu, era oyo ye yayimusiza effumu abasajja abalwanyi bisatu era n’abatta, era kyeyava ayatiikirira mu basatu.

21Yali mwatiikirivu nnyo okusinga abasatu, aboolubereberye, era n’aba muduumizi waabwe, newaakubadde nga teyabalibwa ng’omu ku bakulu.

22Benaya mutabani wa Yekoyaada yali mulwanyi omuzira ow’e Kabuzeeri, eyakola ebyobuzira bingi, era n’okutta yatta abasajja ababiri abaali basingayo amaanyi mu Mowaabu. Ate era yakka mu bunnya mu biro eby’omuzira n’atta empologoma.

23Yatta Omumisiri omuwanvu ennyo eyali fuuti musanvu n’ekitundu. Newaakubadde nga Omumisiri yalina effumu eryenkana omuti ogulukirwako engoye, Benaya ye yagenda gyali ng’alina omuggo, era n’amuggyako effumu, n’alimuttisa.

24Ebyo bye bimu ku byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira nga bali abasajja abasatu ab’amaanyi.

25Yaweebwa ekitiibwa kya waggulu nnyo okusinga abakulu amakumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa lya bali abasatu. Era Dawudi yamufuula omukulu w’abambowa be.

26Abasajja abazira ab’eggye baali:

27ne Sammosi Omukalooli,

28ne Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa,

29ne Sibbekayi Omukusasi,

30ne Makalayi Omunetofa,

31ne Isayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea ow’ekika kya Benyamini,

32ne Kulayi ow’oku bugga obw’e Gaasi,

33ne Azumavesi Omubakalumi,

34batabani ba Kasamu Omugizoni,

35ne Akiyamu mutabani wa Sakali Omukalali,

36ne Keferi Omumekera,

37ne Kezulo Omukalumeeri,

38ne Yoweeri muganda wa Nasani,

39ne Zereki Omwamoni,

40ne Ira Omuyisuli,

41ne Uliya Omukiiti,

42ne Adina mutabani wa Siza Omulewubeeni, eyali omukulembeze wa Balewubeeni, n’amakumi asatu abaabeeranga naye,

43ne Kanani mutabani wa Maaka,

44ne Uzziya Omwasutaloosi,

45ne Yediyayeri mutabani wa Simuli,

46ne Eryeri Omumakavi,

47ne Eryeri, ne Obedi ne Yaasiyeri Omumezoba.

← 1 Ebyomumirembe 10 1 Ebyomumirembe 1 Ebyomumirembe 12 →

1 Ebyomumirembe 11 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™