We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

1 Abakkolinso 7

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← 1 Abakkolinso 6 1 Abakkolinso 1 Abakkolinso 8 →

1Kaakano ku bintu bye mwampandiikira, kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi.

2Naye olw’ebikolwa eby’obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we; era na buli mukazi abeerenga ne bba.

3Omusajja ateekwa okutuukirizanga eby’obufumbo byonna eri mukazi we era n’omukazi bw’atyo.

4Kubanga omukazi bw’afumbirwa aba takyafuga mubiri gwe ye wabula bba, era n’omusajja bw’atyo aba takyafuga mubiri gwe ye wabula mukazi we y’aba agulinako obuyinza.

5Buli omu alemenga okumma munne wabula nga mulagaanye ekiseera mulyoke mufune ebbanga ery’okusabiramu n’oluvannyuma muddiŋŋanenga, Setaani aleme okubasuula olw’obuteefuga bwammwe.

6Naye kino nkyogera mu ngeri ya kukkiriziganya so si mu ngeri ya kuwa kiragiro.

7Nandyagadde buli omu abeere nga nze; naye buli muntu alina ekirabo ekikye ku bubwe ekiva eri Katonda, omu mu ngeri emu n’omulala mu ngeri endala.

8Naye njogera eri abo abatannawasa ne bannamwandu; kirungi okusigala nga bwe bali, era nga nze bwe ndi.

9Naye bwe baba tebasobola kwefuga bafumbirwe, oba bawase, kubanga okufumbiriganwa kisinga okwakiriranga okw’okwegomba.

10Naye abafumbo mbawa etteeka eriva eri Mukama waffe: omukazi tanobanga ku bba.

11Singa baawukana, omukazi ateekwa kubeerera awo, oba si ekyo addeyo ewa bba basonyiwagane; n’omusajja tagobanga mukazi we.

12Abalala njogera gye bali kubanga si tteeka eriva eri Mukama waffe, naye mbagamba nti owooluganda bw’abeera n’omukazi atali mukkiriza ng’ayagala okubeera naye, tamugobanga.

13Era omukazi omukkiriza alina bba atali mukkiriza naye ng’amwagala, tamuvangako.

14Kubanga omusajja atali mukkiriza ayinza okufuulibwa omukkiriza ng’ayambibwa mukyala we omukkiriza, oba omukyala atali mukkiriza ayinza okufuulibwa omukkiriza ng’ayambibwa bba omukkiriza. Kubanga bwe kitaba ekyo abaana bammwe banditwaliddwa ng’abatali balongoofu naye ku lw’ekyo abaana bammwe baba balongoofu.

15Kyokka oyo atali mukkiriza bw’ayagala okwawukana, baawukane; mu nsonga eyo omusajja omukkiriza oba omukyala taasibwenga mu ekyo, kubanga Katonda ayagala abaana be okubeera n’eddembe.

16Ggwe omukazi omukkiriza omanyi otya ng’olirokola balo? Oba ggwe omusajja omukkiriza omanyi otya ng’olirokola mukazi wo?

17Buli omu abeere mu bulamu Mukama bwe yamuwa, era Katonda mwe yamuyitira mw’abatambuliranga. Ekyo ky’ekiragiro kye mpa ekkanisa zonna.

18Eyayitibwa ng’amaze okukomolebwa aleme kugamba nti ssinga teyakomolebwa, n’oyo eyakkiriza nga si mukomole aleme kufaayo ku kukomolebwa.

19Kubanga okukomolebwa si kintu era obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kwe kukwata amateeka ga Katonda.

20Buli omu abeerenga mu kuyitibwa Katonda kwe yamuyitiramu.

21Oba nga wayitibwa ng’oli muddu ekyo kireme okuba ekikulu; naye bw’oba ng’ofunye omukisa okufuuka ow’eddembe, gukozese.

22Kubanga eyayitibwa Mukama nga muddu, Mukama yamufuula wa ddembe, n’oyo eyali ow’eddembe yafuuka muddu wa Kristo.

23Mwagulibwa na muwendo noolwekyo temufuukanga baddu ba bantu.

24Kale abooluganda, buli kifo kyonna omuntu yenna ky’alimu, mwe yayitirwa abeere mu ekyo.

25Naye ku ky’abatafumbirwanga wadde okuwasa, sirina kiragiro kiva eri Mukama wabula Mukama mu kusaasira kwe yampa amagezi agayinza okwesigibwa kwe nnaasinziira okubawa ekirowoozo kyange.

26Kino nkirowooza nga kirungi, olw’embeera eya kaakano, nga kirungi omuntu okusigala nga bw’ali.

27Obanga oli mufumbo tosaanye kwawukana na munno. Naye obanga wayawukana n’omukazi, tonoonya wa kuwasa.

28Kyokka omusajja bw’awasa aba tayonoonye, era n’embeerera bw’afumbirwa naye aba tayonoonye. Wabula abafumbo, obufumbo bujja kubaleetera emitawaana gye nandiyagadde mwewale.

29Naye kino kye mbategeeza abooluganda nti ekiseera kiyimpawadde. Noolwekyo abo abalina abakazi babe ng’abatabalina.

30N’abo abakaaba babe ng’abatakaaba, n’abo abasanyuka babe ng’abatasanyuka. N’abo abagula ebintu babe ng’abatalina kintu kye bayita kyabwe.

31Era n’abo abakozesa eby’oku nsi kuno bireme okubamalamu ennyo, kubanga ensi eya kaakano eggwaawo.

32Naye kye mbagaliza mmwe bwe buteraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeemalira ku bya Mukama, engeri gy’asanyusa Mukama.

33Naye omufumbo yeeraliikirira bya nsi, nga bw’anaasanyusa mukazi we;

34aba yeesazeemu, ng’atta aga n’aga. N’omukazi atali mufumbo n’embeerera bafaayo ku bintu bya Mukama, babeerenga batukuvu mu mubiri ne mu mwoyo. Naye omukazi omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, engeri gy’anaasanyusaamu bba.

35Bino mbyogera olw’okubagasa, so si kubaziyiza kuwasa na kufumbirwa. Kubanga njagala musobole okuweereza Mukama nga tewali birala bibaziyiza okweweerayo ddala.

36Omusajja bw’alowooza nti aba teyeeyisizza bulungi eri omuwala oyo gw’ayogereza bw’atamuwasa, bwe bafumbiriganwa, aba tayonoonye.

37Naye oyo asobola okwefuga ng’alina omutima omunywevu, n’asalawo awatali kuwalirizibwa nti omuwala tajja kumuwasa, aba asazeewo bulungi.

38Kale oyo awasa omuwala gw’ayogereza aba akoze bulungi, naye oyo atamuwasa y’aba asinze okukola obulungi.

39Omukazi omufumbo abeera kitundu kya bba, bba bw’aba akyali mulamu. Naye bba bw’afa olwo ayinza okufumbirwa omusajja omulala gw’ayagala, kyokka omusajja oyo ateekwa kuba mu Mukama waffe yekka.

40Naye nze ndowooza nti alina omukisa oyo singa taddayo kufumbirwa. Era ndowooza nga nange nnina Omwoyo wa Katonda.

← 1 Abakkolinso 6 1 Abakkolinso 1 Abakkolinso 8 →

1 Abakkolinso 7 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™